Amateeka UNBS g'etadde ku bakubo b'obuwunga

Feb 26, 2021

BANNANNYINI  byuma ebikuba kasooli bavuddeyo ne boogera ku mateeka agaabateereddwaako ekitongole ekikola ku mutindo gw'ebikolerwa wano ge bgamba nti makakali nga n'ekiseera ekibaweereddwa okugatuukiriza bagamba nti tekimala.

Amateeka UNBS g'etadde ku bakubo b'obuwunga

NewVision Reporter
Journalist @NewVision
Bya EMMANUEL SSEKAGGO

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku mutindo gw'ebikolebwa mu ggwanga ekya Uganda National Bureau of Standards (UNBS) kyataddewo amateeka  agalina okugobererwa abakuba obuwunga era ng’ataagagoberere waakugobwa mu mulimu guno.

Sylvia Kirabo omwogezi w’ekitongole kya UNBS agamba nti abantu mu Uganda  beeyambisa nnyo akawunga noolwekyo bo abakola ku mutindo tebasobola kuleka bantu kulya mmere eteri ku mutindo.

" Mu ngeri y'emu n’abantu okuva mu bitundu eby’enjawulo babadde bajja batukubira amasimu nga beemulugunya nti oluusi akawunga bakasangamu obuuma,  akamu kaba kakaawa n’ebintu ebirala ebissa omutindo gw'akawunga.

Olw’okwemulugunya kuno kwe kusalawmo ne tuteekawo amateeka agalina okugobererwa n’ekigendererwa eky’okulaba ng’abantu balya emmere entuufu.

Ab'ebyuma ebikuba kasooli baaweebwa okutuuka nga July 1, 2020 okuba nga bamaze okutereeza embeera mwe bakolera n’okuteeka mu nkola amateeka agabaaweebwa UNBS ng'abanaasangibwa nga tebannatuukiriza bisaanyizo tebajja kukkirizibwa kuddamu kukola.

Ebimu ku bibonerezo ebyolekedde ab'ebyuma bya kasooli abaanasangibwa nga tebagoberedde mateeka gano, emirimu gyabwe gijja kuggalwo, bajja kuwa engassi ate n’obuwunga bwe banaaba bakubye bujja kusaanyizibwawo nga ne ssente ezijja okweyambisibwa okubusaanyaawo be bajja okuzisasula.

AMATEEKA UNBS GE YAWADDE ABAKUBA OBUWUNGA BWA KASOOLI

  1. Okuteeka mu nkola amateeka gonna agakwatagana n’ebyobuyonjo eri  abali mu mulimu gw’okukola ebyokulya n’ebyokunywa nga bwe gaafulumizibwa UNBS. 
  2. UNBS eyagala abakola obuwunga bwa kasooli okubuteekako ebibukwatako gamba nga olunaku lwe bukoleddwa ne lwe bulina okusembayo okukozesebwa.
  3. Abakuba kasooli bonna mu ggwanga balina okwewandiisa mu kitongole ekiwandiika ebibiina byonna mu ggwanga ekya   Uganda Registration Services Bureau (URSB) ate n’okufuna satifikeeti ya UNBS.
  4.  Abalina ebyuma bya kasooli balina okukuuma ekifo we bakolera nga kiyonjo, era buli kifo kirina okuba ne kaabuyonjo wamu n’okuba n’ekiwandiiko ekiraga nti buli lunaku ekifo kiyonjezebwa.
  5. Okukeberanga abakozi baabwe oba balina obulwadde bwonna, okuwa abakozi baabwe ebibikka ku mutwe nga bakola emirimu ate n’okuteekawo ebifo eby’enjawulo abakozi we bakyusiza engoye.
    1.  Okuteeka we bakolera obuuma obukwata obuwuka obuyinza okuyingira mu buwunga.
       
    2. Okukakasa nti kasooli wamu n’obuwunga buterekebwa bulungi awantu awatatuuka mazzi

6.   Akawunga akamaze okukubibwa kalina okuteekebwa obulungi mu kaveera ak’omulembe, okuli amannya n’obulambe bulina okuba obulambulukufu nga bulaga olunaku lwe bukubiddwa ne lwe bulina okusemba okukozesebwa, erinnya ly’omuntu abukubye, gy’abeera, ennambika ku ntereka, wamu n’obuzito bwennyini obuli mu kaveera ako.

8. Kasooli n’akawunga tebirina kubaamu bintu birala gamba nga amayinja nga bino byonna bikolebwa okulaba ng’abantu abalya akawunga tebafuna bulwadde.

ABAKUBA OBUWUNGA BAWANJAZE KU BUDDE OBUBAWEEREDDWA

Moses Tuuma akulira ekibiina ekigatta abakubi b’obuwunga bwa kasooli mu Kisenyi ekya Kisenyi Millers Association ng'ekibiina kino kirimu bammemba abasoba mu 220 agamba: Amateeka ekitongole kya UNBS ge kireese tetugaalinaako buzibu wabula ebbanga lye batuwadde okwetereeza  ttono .

Nga tukyaali mu ssennyiga omukambwe, nze ndowoowa si bwe bwandibadde obudde obutuufu ate okuleeta amateeka amakambwe bwe gatyo eri abantu abali mu mulimu gw’okukuba obuwunga nga n’abasinga ku bo bamufunampola.

“Abantu be nkulembera abasinga bayinza okuwalirizibwa okuva mu mulimu guno olw’ensonga nti tebalina busobozi butuukiriza byonna UNBS by'eyagala. Kye nsaba gavumenti yandibadde etuyambako okulaba nga waakiri ewola abantu abali mu bizinensi y’okukuba obuwunga okulaba nga beetuusaako ebyetaagibwa aba UNBS okusobola okutukana n’omutindo” Tuuma bwe yagambye.

Tuuma ayongerako nti: tusaba gavumenti ne UNBS eyongezeeyo ennaku ez’okukolerako ebikwekweto okuggala abatannaba kutuukiriza byetaagisa wakiri omwaka guno gutuggweeremu naffe tusobole okwetereeza obulungi.

AMATEEKA GE BATUTADDEKO MAKAKALI 

Biral Matono Kato nannyini kkampuni ekola obuwunga emanyiddwa nga MKB  mu Kisenyia agamba: Amateeka UNBS ge yaleeta tetugalinaako buzibu era abamu twafuna dda ne satifikeeti okuva mu URSB .

Kawefube w’okutereeza omulimu gwaffe tumukwasiza maanyi, we tukolera tuterezezzaawo, obuyonjo tubwongeddemu era nga tulowooza nti ebbanga lye baatuwa linaagenda okuggwaayo nga tulina kwetutuuse. Naye ekizibu ekiriwo kiri nti aba UNBS tebaatuula naffe nga bakola amateeka gano, tubalabye bulabi nga bazze kugatusomesa.

Okugeza waliwo etteeka erigamba nti ‘tulina okukyusa amannyo g’ebyuma bye tukozesa tutandike okukozesa aga pulasitiika’ ekyo si kintu kyangu kubanga eba nga mmotoka ya petulooli ate kigikyusa nti etandike okukozesa dizero, oba olina kumpi kugikyusa yonna. N’ebyuma bwe biri, bwe batugamba tukyuse amannyo tuba nga abagenda okukyusa ekyuma kyonna ekintu ekizibu era ekyetaaga ssente ennyingi.

Ne bw'ogamba nti buli kyuma kibeere ne kaabuyonjo, abamu bakolera awantu wafunda ate nga nawo bapangisaawo bupangisa, bano bw'obagamba okuteeka kabuyonjo mu kifo ekyo kiyinza okubakaluubirira. Ndowooza baalireseewo enkola ey’okuba ng'abali mu mulimu guno okusigala nga bakyakozesa kaabuyonjo ez’olukale.

Comments

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});